Liigi ya Super eya Rugby:
Hima Heathens 06-00 Betway Kobs
FT Buffaloes 12 – 22 Mongers
Pirates 12 - 00 Rhinos
Impis 10 - 17 Warriors
Ekibinja kya wansi:
Sailors 22 - 00 Kifaru
Hippos 10 - 06 Rams
Pacers 33 - 06 Rams 2
Stallions 8 - 03 Boks
HIMA Heathens, bannantameggwa ba liigi y’eggwanga eya rugby, yatandise na bbugumu bwe baakubye Betway Kobs ku bugoba 06-00 mu zimu ku nzannya ezagguddwo sizoni.
Omupiira guno, mu liigi eyakyusizza erinnya okuva ku Nile Special Rugby League okudda ku Nile Special Stout, gwazannyiddwa ku bitaala mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga, ku kisaawe kya Kyaddondo.
Wabula bo aba Toyota Buffaloes baatyoboddwa Plascon Mongers gye baakyazizza okuva e Ntebe, eyabakubye ku bugoba 22-12.
Kkampuni ya Nile Breweries, abassa ensimbi mu liigi eno, ku mulundi guno bataddemu obukadde 670, okuva ku 150, n’ekigendererwa ky’okutumbula omuzannyo nga batandikira ku kiraabu. Ceeke yakwasiddwa abakulira ekibiina kya Uganda Rugby Union, ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga.