TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Eyawangudde emifumbi akolerera za Bulaaya

Eyawangudde emifumbi akolerera za Bulaaya

By Silvano Kibuuka

Added 2nd December 2019

Isaac Mubikirwa, asitukidde mu mpaka za Mr. Uganda ez'okusiba emifumbi

Mrugweb 703x422

Isaac Mubikirwa ng'avuganya ku fayinolo ya Mr.Uganda

Omuziimbi w’emifumbi, Isaac Mubikirwa alaze bw’akyali nnantameggwa mu muzannyo guno bwe yawangudde obwa Mr. Uganda omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa.

Mubikirwa, nga nnaansi omusajja, akolera ku ggiimu ya University of Pain, yasooka kuwangula mu 2017 n’omwaka oguwedde, era yategeezezza nti  atunuulidde kuvuganya mu mpaka za Bulaaya omwaka ogujja.

Yavuganyirizza mu bizito bwa Lt. Heavyweight, kkiro 80-85,  n’asooka abamegga okuyingira fayinolo mwe yavuganyirizza n’abaawangudde mu bizito obulala. Kuliko;  Ronald Kalule eyakutte ekyokubiri eyawangudde mu bizito bwa middleweight, Godfrey Lubega (kyakusatu)okuva mu buzito bwa Walterweight (nga ye Mr. Kampala omwaka guno), Daniel Mwesigwa (Heavyweight), Abdul Lubega (Light Weight) ne Haksman Kisekka (Bantam weight).

“Omubiri gubadde mulungi nga kivudde mu kukola nnyo . Kati ntuluulidde za Bulaaya,” Mubikirwa bwe yagambye.

Abazannyi 60 be bavuganyizza mu mpaka za Mr. Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana