TOP

Buganda eri bubi mu FUFA Drum

By Ismail Mulangwa

Added 2nd December 2019

Pulovinsi ya Buganda etandise bubi mu mpaka za FUFA Drum, kyokka baweze okufiira ku Acholi okutangaaza emikisa egyeyongerayo ku semi

Bugandaweb 703x422

Isaac Otto owa Acholi (ku kkono) ng'akulukuta n'omupiira. Ku ddyo ye Enock Walusimbi owa Buganda.

Egyazanyiddwa

Bukedea 2-1 Tooro

Acholi 1-0 Buganda

Ku Lwokubiri

Acholi-Tooro 8:00

Bukedea-Buganda 10:00

BANNANTAMEGGWA bw’omwaka oguwedde aba Buganda, tebyabagendedde bulungi mu mupiira gwabwe ogwasoose ku ‘quarter’ y’empaka za pulovinsi eza FUFA Drum.

Buganda yakubiddwa Acholi ggoolo 1-0 mu mupiira ogwaguddewo oluzannya luno mu kibinja B mwe bali ne Bukedea ssaako Tooro.

Kino kyasannyalazza emikisa gya Buganda okweyongerayo ku semi, ng’okuddamu essuubi, balina okuwangula Bukedea, ate ne basaba Tooro akube Acholi akulembedde,  oba bakole amaliri.

Singa Buganda eremererwa okukuba Bukedea, ne Tooro n'eremererwa okukuba Acholi, kitegeeza nti Bukedea ne Acholi Bagenze ku bubonero 6 nga Uganda n'ebwegoba ogusembayo tekigitaasa kuba yo ne Tooro tebalina wadde akabonero.

Kyokka ne Bukedea eyakubye Tooro 2-1, okwongera okwenyereza mu kuvuganya ku kyokubiri, ewera kufiira ku Buganda.

“Tugenda kukola ekisoboka  okulaba nga tudda engulu oluvannyuma lwa  Martin Mpuga ne Said Kyeyune okutwegattako okwongera okuggumiza ttiimu, “ Alex Isabirye, atendeka Buganda bwe yagumizza.

Mu ngeri y’emu, abasogozi b'omwenge gwa Eagle Poa okuva mu Nile Breweries baakakasizza okuvujjirira empaka zino okumala emyaka esatu, nga buli mwaka baakuwaayo obukadde 250/-, mu kutimba ebisaawe, okugula emijoozi, ekikopo, emidaali n’ebirabo ebirala.

Tito Okello (Acholi) ne Fredson Gwoto (Bukedea) baaweereddwa emitwalo 10 olw’okusukkuluma ku  bannaabwe mu mipiira gyombi ku Pece War Memorial Stadium.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....