TOP

Shafiq Kiwanuka alinze kavvu wa USPA

By Silvano Kibuuka

Added 3rd December 2019

Omuggunzi w'eng'uumi Shafiq Kiwanuka alidde eky'obuzannyi bwa November

Kiwanukaweb 703x422

Ddiifiri Simon Katongole ng'awanika Kiwanuka ku lw'obuwanguzi. Ku ddyo ye Dube

OMUGGUNZI w’enguumi Shafiq Kiwanuka alinze kavvu wa mitwalo 50 oluvannyuma lw’okuwangula engule y’omuzannyi asinze abalala mu November.

Obuwanguzi Kiwanuka bwe yatuseeko ku Lwokutaano, bwe yamezze Thamsanq Dube owa Zimbabwe ku musipi gwa Africa ogw’ekibiina kya World Boxing Federation (WBF), bwe bwamulonzezza.

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA) baamulangiriridde mu lutuula lwabwe olwa buli mwezi, ‘Nile Special - USPA monthly meeting’ ku wooteeri ya Imperial Royale ku Mmande.

Yamezze kiraabu ya Betway Kobs eya Rugby, eyawangudde Uganda.

Waakusiimibwa mu January n’omuddusi Joshua Cheptegei eyawangudde mu October wamu n’anaawangula mu December.

Abalala abaasiimiddwa mu November ye Isaac Mubikirwa ow’emifumbi, eyawangudde ekya Mr. Uganda, ttiimu za volleyball ne handball eza yunivasite y’e Nkumba ezaawangudde liigi y’eggwanga, ttiimu y’eggwanga ey’okuwuga eyakutte ekyokubiri mu za ‘Africa Zone 4’ e Kenya ne Prisons ey’abasajja eyawangudde handball.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...