TOP

Arsenal gakyagyesibye ku mutendesi

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2019

OBUGANIRIZA bw’ensimbi mu boodi ya Arsenal ekulirwa Omumerika Stan Kroenke, bugitadde awazibu ku muyiggo gw’eriko ogw’omutendesi.

Ljungberg 703x422

Freddie Ljungberg

Kigambibwa nti abatendesi abagundiivu bagaanyi omulimu guno olw’omusaala omutono ate nga ne boodi ya Arsenal tekkiriza kubawa nsimbi zeegasa kugula bassita banaggumiza ttiimu.

Mu batendesi abagambibwa okuzira Arsenal kuliko; Carlo Ancelotti, ali ku ndeboolebo y’okugobwa mu Napoli eya Yitale, Massimiliano Allegri, eyagobwa mu Juventus ku nkomerero ya sizoni ewedde, ne Mauricio Pochettino, eyagobeddwa mu Spurs.

Arsenal yataddewo Freddie Ljungberg ng’omutendesi ow’ekiseera oluvannyuma lw’okugoba Unai Emery ng’alemeddwa okusitula omutindo gwayo.

Kigambibwa nti boodi yandisemba Ljungberg afuuke ow’enkalakkalira oba okuleeta Mikel Arteta, amyuka Pep Guardiola owa Man City. Bano baagalwa lwa butabeera ba buseere sso si bakugu nnyo mu butendesi.

Arsenal yaamunaana mu Premier ng’erina obubonero 19 mu mipiira 14. Ku Lwokuna, Arsenal ekyaza Brighton mu Premier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...

War1 220x290

Tekinologiya wa Iran asannyalazza...

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala...