TOP
  • Home
  • Mupiira
  • FUFA yeefukuludde eza CECAFA n'ezizza e Kampala

FUFA yeefukuludde eza CECAFA n'ezizza e Kampala

By Hussein Bukenya

Added 4th December 2019

Uganda Cranes ye ttiimu ekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi.

Cranescecafa28871 703x422

McKinstry (ku ddyo) n'omumyuka we Abdallah Mubiru.

EMPAKA za CECAFA Senior Challenge Cup ezaasoose okutwalibwa e Jinja n’e Bugembe ate zizziddwa mu Kampala.

Kiddiridde FUFA okulangira nti bagenda kukozesa kisaawe kya KCCA e Lugogo n’ekirala kye bagenda okulangira obudde bwonna.

Empaka zino, Uganda y’egenda kuzitegeka wabula zirabika enteekateeka erimu ebirumira.

Ku Lwokubiri, FUFA yafulumizza ebisaawe okwabadde kya FUFA Technical Centre e Njeru n’eky’e Bugembe nga bye bigenda okuzannyirwamu empaka zino ezitandika ku Lwomukaaga luno kyokka ate oluvannyuma ne bazijjulula.

 bazannyi ba ranes mu kutendekebwa gye buvuddeko Abazannyi ba Cranes mu kutendekebwa gye buvuddeko.

 

FUFA yafulumizza ekiwandiiko ku mukutu gwayo ogwa fufa.co.org ekiraga nti empaka zikyusiddwa.

Kenya be balina ekikopo kino nga okukiwangula baakuba Zanzibar mu peneti mu 2017.

Cranes, ttiimu ekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi, eri mu kutendekebwa okwa kaasammeeme okukiwangula omulundi omulala.

Baakakikwangula emirundi 13 era omutendesi Johnathan McKinstry agamba nti bagenda kufiirawo bakiwangule.

Cranes yayingidde enkambi ku Paradise Hotel e Kisaasi okulaba ng’abazannyi bongera okwetegeka. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.