TOP
  • Home
  • Ebirala
  • UCU Lady Canons ewangudde n'edda mu kintu

UCU Lady Canons ewangudde n'edda mu kintu

By Gerald Kikulwe

Added 5th December 2019

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Ucumussanyu9214 703x422

Aba UCU Lady Canons nga basanyukira obuwanguzi.

Mu Fayinolo za Basketball
JKL Dolphins 58-69 UCU

UCU Lady Canons eyongedde ebbugumu mu fayinolo y’ekikopo kya liigi ya
basketball bw’ekubye JKL Dolphins  69-58 mu luzannya olwokuna n’edda
mu kibalo.

Ku Lwokuna, ttiimu zombi zadding’anye mu nsiike eyookuna kw’ezo
omusanvu ze balina okuttunka nga babbinkanira ekikopo kya sizoni eno.

JKL ebadde yaakawangulako enzannya bbiri, nga yeetaaga kuwangula yaakusatu
okutangaaza emikisa wabula UCU ebadde yaakawangula ogumu, yaggyeeyo
n’omu buto okufuna obuwanguzi obwokubiri.

Enkya (Lwakutaano) badding’ana mu luzannya olwokutaano nga bonna benkanya wiini
(2-2).

Ttiimu eneesooka okufuna wiini nnya y’egenda okulangirirwa ku
bwakyampiyoni bw’omwaka guno.

 bazannyi ba etway ower nga battunka ne ity ilers etway owers yaakuzannya ogwekifo ekyokusatu ne yambogo orrriors Abazannyi ba Betway Power nga battunka ne City Oilers. Betway Powers yaakuzannya ogw'ekifo ekyokusatu ne Kyambogo Worrriors..

 

Zainah Lokwameri owa UCU ye yasinze okukola obugoba (15), Libbaawundi
5, Rhoda Naggita (14), Rose Akon (11) ate Sarah Ageno n'akola obugoba
12.

Libbaawundi 17 n’ayambako abateebi emirundi ettaano, kyamufudde
omuzannyi eyasinze banne bonna mu muzannyo (MVP).

Stella Oyella ye yasinze okuteebera JKL Dolphins ku bubonero(15)
n’addirirwa Hope(10).

Mu fayinolo y'abasajja, enzannya zaabwe zaayimiriziddwa olwa City Oilers okuba nti egenda kuzannya mu mpaka za Champions of Afrika.

UCU Canons bwe battunke ne City Oilers era enzannya za fayinolo zaakuddamu nga eza Afrika ziwedde nga December 22.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...