TOP

Arsenal nja kugizza engulu - Ljungberg

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

Arsenal emaze emipiira mwenda mu mpaka zonna nga tewangula nga ku gino mukaaga gya Premier.

Ljungberg 703x422

Freddie Ljungberg omutendesi wa Arsenal ow'ekiseera.

OMUTENDESI wa Arsenal ow’ekiseera, Freddie Ljungberg agambye nti ye muntu omutuufu okusitula Arsenal n’agizza ku maapu.

Ljungberg, eyasikidde Unai Emery ku butendesi bwa Arsenal agamba nti abamuyisaamu amaaso nti ttiimu emulemye okuggya mu nvuba, bajja kusirika.

Arsenal ekyalira West Ham leero mu Premier kyokka ng’omupiira guno gujjidde mu kaseera nga mu mipiira gya Ljungberg ebiri, tawanguddeeko na gumu nga Norwich yabasudde amaliri ga ggoolo 2-2 sso nga Brighton yabawangudde ggoolo 2-1.

Nga beetegekera omupiira gwa leero, Ljungberg agamba nti wadde nga ttiimu eri mu bifo ebina ebisooka ebasinga obubonero 10, bakyalina omukisa okumalira mu bifo ebina ebisooka.

 ieira ku kkono ayagala omulimu gwokutendeka rsenal u ddyo ye du akulira ebyekikugu Vieira (ku kkono) ayagala omulimu gw'okutendeka Arsenal. Ku ddyo ye Edu akulira ebyekikugu.

 

Batabani ba Ljungberg bano baasemba okuwangula omupiira ku ntandikwa ya October bwe baakuba Bournemouth ggoolo 1-0.

Baakamala emipiira mwenda nga tebawangula nga ku gino baakamala emipiira mukaaga egya Premier nga tawangula.

Baagala Vieira akwatemu;

Kyategezeeddwa nti abakulira okunoonya omutendesi wa Arsenal omuggya basonze ku Patrick Vieira eyaliko kapiteeni waabwe.

Edu, akulira ebyekikugu mu Arsenal era nga yazannyanga ne Vieira mu ttiimu eyawangula ekikopo kya Premier nga tekubiddwaamu, agambibwa okuba nti ayagala eyali kapiteeni we ono y’aba akwatamu.

Vieira, atendeka Nice eya Bufalansa naye yakkirizza nga bwe yandyagadde omulimu guno kyokka abatunuulizi bagamba nti ayinza obutagusobola.

 ovac eyali atendeka ayern naye omulimu gwa rsenal agwagala Kovac eyali atendeka Bayern naye omulimu gwa Arsenal agwagala.

 

Nice yawangudde Metz ggoolo 4-1 n’edda mu ky’e 13 nga mu mipiira 16, erinamu obubonero 23. Mu mipiira gino yaakawangulako musanvu n’akubwa munaana.

Mu ngeri y’emu, eyali omutendesi wa Bayern, Nico Kovac yeesowoddeyo n’awaayo ebimukwatako mu Arsenal ng’ayagala bamulowoozeeko ku butendesi bwa ttiimu eno.

Kovac, yafuumuulwa mu Bayern nga bamulanga ttiimu eyo kuvumbeera era mu kiseera kino talina mulimu.

Arsenal erina emipiira emizibu mu biseera by’ebikujjuko bya Ssekukkulu nga ku Ssande, yaakukyaza Man City, ezzeeko Everton nga December 21, Bournemouth (December 26), Chelsea (December 29) ne ManU nga January 1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna