TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kigulu ekutudde Bunha mu Masaza g'e Busoga

Kigulu ekutudde Bunha mu Masaza g'e Busoga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

Kigulu eweereddwa kavvu oluvannyuma lw'okusitukira mu mpaka z'Amasaza g'e Busoga

Kyabazingaweb 703x422

Kyabazinga (owookubiri ku kkono) ng'akwasa aba Kigulu ekikopo

Bya BRUNO MUGOODA

Mu Masaza ‘e Busoga:

(Ekyokusatu)

 Buzaya 1-0 Bukhooli

Fayinolo

Kigulu 1-0 Bunha

ABAZANNYI b’Essaza lya Bunha baawotese abamu ne batuula ku ttaka, nga Wilber Rikupe  ateebedde Kigulu ggoolo mu ddakiika ey’e 88. Baabadde battunka ku fayinolo  y'emipiira gy’Amasaza g’e Busoga ku Ssande e Kakindu.

Oluvannyuma abawagizi ba Kigulu baakoolobezza ennyimba ezisoomooza Ayub Isiko, atendeka Bunha, ne bamulanga okubalyamu olukwe n’alekawo ttiimu yaabwe era nti baamusasudde.

Gwabadde mulundi gwakusatu nga  Bunha ekubirwa ku fayinolo z’empaka zino. Bukhooli North  ye yasooka okugiwangula mu 2016  ne Butembe  mu 2017.

“ Tugenda kwetereeza tukomewo  n’amaanyi  sizoni ejja,'' Isiko bwe yategeezezza.

Musaayimuto  Edrine Opaala, 17, owa Buzaya yalondeddwa ng’eyasukkkulumye ku banne mu mpaka zino ate Issa Mugoya (Bukhooli North) n’asinga mu kulengera akatimba, nga yateebye ggoolo 6.

Opaala azanyira tiimu ya Busoga United ento, era nga ye yasinga mu beetaba mu mpaka za COPA Coca Cola, ezaali e Jinja, yateebedde Buzaya ggoolo 4, omwabadde n’eyayambye Essaza  (Buzaya) okumalira mu kyokusatu. Baawangudde  Bukhooli ggoolo 1-0.

Kigulu ku kikopo ekyabakwasiddwa Kyabazinga wa Busoga, Gabula Nadiope,yafuniddeko ne kavvu wa 5,000,000/-, ate  Bunha n’eweebwa 2,000,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi