TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abawagizi abanvumbye enkima ba kyalo - Fred

Abawagizi abanvumbye enkima ba kyalo - Fred

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

Fred yeegatta ku ManU ng'ava mu Shakhtar Donetsk eya Ukraine oluvannyuma lwa World Cup ya 2019.

2018manuvpsg11 703x422

Fred omuwuwuttanyi wa ManU ng'asanyukira ggoolo mu mupiira ogumu gye buvuddeko.

OMUWUWUTTANYI wa ManU, Fred agambye nti abawagizi abaamung’odde ne bamuvuma enkima ba mabega nnyo.

Nga ManU ewangula Man City ggoolo 2-1 ku Lwomukaaga, abawagizi ba Man City abamu baasiiwuuse empisa ne bang’oola Fred abamu ne bamukasukira ebicupa bwe yabadde aleeta ekkoona.

Fred, omu ku bazannyi abaasinze okwolesa omutindo mu nsiike eyo, agamba nti abawagizi abang’oola abazannyi balimu ekyalo era ba mabega nnyo.

Jesse Lingard ye muzannyi omulala ku be baavumye enkima ku mupiira ogwo.

Fred agamba nti ne we yazannyiranga mu Shakhtar Donetsk eya Ukraine, era abawagizi baamuvumanga enkima.

ManU, yawangudde omupiira guno n’erinnya mu kifo ekyokutaano mu Premier. Bali ku bubonero 24 mu mipiira 16.

Abakungu ba FA nga bakolaganira wamu n’aba Man City baakwatidde wamu ne babaako abawagizi be baakutte olw’okusiiwuuka empisa.  

Ku Lwokuna, ManU yaakuttunka ne AZ Alkmaar eya Budaaki mu gwa Europa.

ManU yayitamu dda okwesogga oluzannya oluddako mu mpaka zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi