TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abaana abava mu bitundu by'omugotteko bajuniddwa

Abaana abava mu bitundu by'omugotteko bajuniddwa

By Stephen Mayamba

Added 9th December 2019

Abaana abava mu bitundu by'omugotteko balabuddwa kutumbua ttalanata zaabwe

Slumweb 703x422

Omuteebi wa KCCA FC, Sadat Anaku (emabega ku ddyo) yaduumidde Acholi Qaurters FC bwe yabadde ettunka ne Police mu gwaguddewo empaka za Acholi Quarters Slum Soccer Tournament 2019. Acholi yawangudde ggoolo 2-0.

 

ABAANA n’abavubuka ababeera mu bitundu by’omugotteko mu munisipaali y’e Nakawa basambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Bulaaya ekya UEFA okubawa ebikozesebwa mu mupiira.

Aba UEFA nga bayita mu kitongele kyabwe ekigaba obuyambi ekya UEFA Foundation baawadde abaana emipiira, obutimba, emijoozi, engatto n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kutendekebwa. Baabiyisizza  mu kibiina kya Aliguma Foundation ekyabibakwasizza mu kaggulawo empaka za ‘Acholi Quarters Slum Soccer Tourament’.

Empaka zino, ezaatandise ku Lwomukaaga, zeetabiddwamu ttiimu 24 okuva e Naggulu, Mbuya ne Nakawa era ng’omuwanguzi wakuweebwa sseddume w’ente.

 baana bomu bitundu bya choli uarters nga bali nebimu ku bintu ebyabawereddwa Abaana b'omu bitundu bya Acholi Quarters nga bali n'ebimu ku bintu ebyabaweereddwa

 

“ Mukuume empisa, mubeeraa bayonjo ate munnyikize emizannyo kubanga musobola okugyeyambisa a okuyitimuka n’okukyusa embeera z’obulamu bwammwe,” Rita Aliguma, akulira Aliguma Foundation bwe yabakuutidde ng’abakwasa ebintu bino.

Abakulira Abato Schools ne Shepherd House Junior School, baawaddeyo sikaala 20 eri abaana okuva mu kitundu kya Acholi quarters okutandika n’omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...

Bab12 220x290

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika...

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

Malac 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...