TOP
  • Home
  • Rally
  • Uganda yeddizza ekya Afrika mu ddigi

Uganda yeddizza ekya Afrika mu ddigi

By Ismail Mulangwa

Added 9th December 2019

Kati emirundi giri musanvu nga Uganda esitukira mu ngule ya Afrika. Ku Ssande yazeddizza omulundi ogwokubiri ogwomuddiring'anwa.

Ddigi1222 703x422

Abavuzi ba ddigi okuva mu Uganda nga bajaganya okumegga Kenya.

Obubonero bwe baakung’anyizza ku Ssande

Kenya 696

Uganda 596

WADDE baakutte kyakubiri mu mpaka ezaabadde e kenya, ttiimu ya Uganda eya ddigi yeddizza ekikopo ky’amawanga agava mu bubanjuba n’amasekkati ga Afrika (FIM Central Africa Motorcross Championship). Bano baameze Kenya ku mugatte gwa bubonero 2075.

Ku Ssande baabadde mu kibuga Nairobi e Kenya ng’eno baafuniddeyo obubonero 596. Kenya eyawangudde mu mpaka z’oku Ssande yafunye obubonero 696. Uganda yatwala ekibinja ky’abavuzi 22 nga bano be bagiyambye okweddizza ekikopo kino.

Kapiteeni wa ttiimu eno, Maxime Van Pee yeebazizza abavuzi olw’omutindo omulungi n’empisa ze baayolesezza nga battunka ne Bannakenya ku ngule eno.

“Ndi musanyufu nti nsobodde okukulembera ttiimu nga yeedizza ekikopo kino. Twatwala abavuzi batono wabula baasobodde okulwanirira ekitiibwa ky’eggwanga,” Van Pee bwe yagambye.

Guno gwabadde mulundi gwa musanvu nga Uganda esitukira mu ngule eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...

Bab12 220x290

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika...

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

Malac 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...