TOP

Ttiimu za Super zeebugira liigi

By Stephen Mayamba

Added 10th December 2019

Oluzannya lwa StarTimes Uganda Premier League olwokubiri lutandika mu January

Bainamaniweb 703x422

Stephen Mukwala (ku kkono) Mike Mutebi ne Bainamani

 

OLUZANNYA olwokubiri olwa liigi y’eggwanga eya babinywera, ‘StarTimes Uganda Premier League’, lutandika mu January w’omwaka ogujja.

Bernard Bainamani, akulira emirimu mu kakiiko akaddukanya liigi, yagambye nti kino bakikoze kubanga baagala liigi ekomekkerezebwe mangu, Cranes y’abaguzannyira awaka esobole okubeera n’ekiseera ekimala okwetegekara empaka za CHAN. Empaka zino zaakubeera mu Cameroon wakati wa April 4-25, 2020.

“Ensengeka y’emipiira gino egenda kufulumizibwa ekiseera kyonna, nga wadde giyinza okubeera egy’okumukumu, tugenda kufuba okulaba nga gisengekebwa mu ngeri etegenda kumenya ttiimu yonna,”Bainamani bwe yannyonnyodde. Yabadde ku wooteeri ya Kati Kati e Lugogo ku Mmande, ku mukolo gw’okukwasizaako omuzannyi n’omutendesi abaanywedde mu bannaabwe akendo mu November.

Stephen Mukwala (Maroons), eyateeba ggoolo musanvu, ne Mike Mutebi, atendeka KCCA FC be bawangudde ebirabo bino.

Oluzannya olwasooka we lwaggweerako nga Vipers SC ekajjadde ku ntikko  n’obubonero 36 okuva mu mipiira 15, KCCA bakyampiyoni b’omwaka oguwedde bali mu kyakubiri ku 32, BUL FC (29) ne Villa mu kyokuna ku 27. Police, Bright Stars ne Proline ze zikoobedde okuva wansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo