TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Magogo amazeeko ekibonerezo ky'okutunda tiketi

Magogo amazeeko ekibonerezo ky'okutunda tiketi

By Stephen Mayamba

Added 10th December 2019

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo asuubirwa okukomawo mu ofiisi oluvannyuma lw'ekkoligo ly'emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira

Magogoweb 703x422

Magogo (ku kkono) ne Edgar Watson, akulira emirimu mu FUFA

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo ku Lwokusatu nga December 11, lw’asuubirwa okuddamu okukakkalabya emirimu gye, oluvannyuma lw’okumalako ekkoligo ly’emyezi ebiri eryamuweebwa FIFA.

FIFA, ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna kyakaliga Magogo emyezi ebiri nga teyeenyigira mu kintu kyonna kyekuusa ku mupiira, oluvannyuma lw’okuzuulibwa nti yaguza omusuubuzi wa Amerika, tiketi ze yalina okuwa Bannayuganda ku bbeeyi ensaamusaamu, bagende banyumirwe World Cup eyali mu Brazli mu 2014.

Ekibonerezo kino, ekyatandika nga October 10, kyaweddeko ku Mmande nga December 9, era Magogo abadde asuubirwa mu ofiisi ku Lwokubiri nga December 10, wabula teyasobodde.

hmed ussein omwogezi wa  Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA

 

Omusango ogwaleetera Magogo embererezi gwawabwa omubaka Allan Sewanyana (Makindye West) mu 2017, Magogo bwe yatuuka mu FIFA n’agukkiriza n'akaligibwa n’atanzibwa ne doola 10,000/-.

Akulira ebyempuliziganya mu FUFA, Ahmed Hussein, yategeezezza nti beetegese okumwaniriza mu ngeri ey’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi