TOP

Eyagobwa mu Leicester alumbye Vardy

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Claude Puel, eyagobwa ku butendesi bwa Leicester City mu February, alumbye omuteebi Jamie Vardy nti muzannyi mulungi naye ebiseera ebisinga yeeyisa ng’omwana omuto.

Puelvardy 703x422

Vardy y’akulembedde abateebi ba Premier ne ggoolo 14 kyokka Puel agamba nti yalemwa okutegeera enneeyisa ye kuba yeeyisa ng’omwana omuto.

Omufalansa Puel ayongerako nti obutakusula Lungereza nakyo kyamukosa nnyo ku Leicester kuba pulaani ze nnyingi zaalemwa okutegeerwa abazannyi ttiimu n’etekola bulungi.

Abawagizi ba Leicester baanenya nnyo Puel olw’okutuuzanga Vardy kyokka ye yeewolereza nti Vardy yali akaddiye ng’azannyisa Demarai Gray omuto, ebiseera bya Leicester eby’omu maaso bitangaale.

Yagasseeko nti Leicester wadde yamugoba naye agyagaliza birungi byereere. Leicester yaakubiri mu Premier ng’erina obubonero 35 mu mipiira 15. Liverpool eri ku ntikko erina 46 mu mipiira 16. Leero Leicester ekyalira Aston Villa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo