TOP

Oweebikonde bamutulisizza omumwa

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Alistair Overeem 38, yasubiddwa engule y’ensambaggere, Jairzinho Rozenstruik bwe yamusooberedde n’amuwumiza eng’uumi n’emuyuza omumwa, ddiifiri n’ayimiriza omuzannyo gwe yabadde akulembedde mu bubonero.

Alistairovereem1 703x422

Alistair Overeem

Bino byabaddewo ku Ssande mu kibuga Washington DC ekya Amerika, abazannyi bombi bwe baabadde battunka mu bikonde n’ensambaggere (martial arts) wansi w’empaka za UFC.

Overeem, alina obutuuze bw’e Bungereza ne Budaaki, yazannye bulungi laawundi ezisooka wabula ng’eyookutaano ebulako obutikiti buna okuggwaako, Jairzinho yamusooberedde n’amukuba eng’uumi ku mumwa n’emusuula ku ddimwa, ddiifiri Dan Miragliotta okumukebera ng’emuyuzizza omumwa ogwa waggulu omusaayi gufuuwa ng’ente esaliddwaako obulago.

Ddiifiri yayimirizza omuzannyo Jairzinho n’ajaganyiza obuwanguzi wadde ng’oluvannyuma Overeem yeemulugunyizza nti ddiifiri yapapye okusazaamu olulwana lwe.

Bo abalamuzi b’ensiike eno bonna baabadde balaga nti Overeem yabadde akyakulembedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo