TOP

Edu awagira Vieira okutendeka Arsenal

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Abadde omutendesi wa Bayern Munich, Niko Kovac ayingidde olwokaano lw’abaagala okusikira Unai Emery, eyagobeddwa mu Arsenal.

Vieira2 703x422

Patrick Vieira

Kovac yagobeddwa mu Bayern omwezi oguwedde lwa kulemwa kusitula mutindo gwayo kyokka kati ayagala Arsenal emukanse.

Wabula ensonda mu Arsenal zaategeezezza nti akulira emirimu mu ttiimu eno, Edu, omulimu agwagaliza Patrick Vieira, atendeka Nice eya Bufalansa.

Omubrazil Edu n’Omufalansa Vieira, baasambirako wamu mu Arsenal eyawangula Premier nga tekubiddwaamu mu sizoni ya 2003-04.

Abatendesi abalala abasemberezebwa ku mulimu gwa Arsenal kuliko; Mikel Arteta, amyuka Pep Guardiola mu Man City, Massimiliano Allegri eyagobwa mu Juventus sizoni ewedde, Carlo Ancelotti owa Napoli ne Mauricio Pochettino, eyagobeddwa mu Spurs.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi