TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Tewali agenda kulemesa Liverpool kuwangula Premier sizoni eno - Benitez

Tewali agenda kulemesa Liverpool kuwangula Premier sizoni eno - Benitez

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni eno.

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 703x422

Rafa Benitez eyatendekako Liverpool

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni eno.

“Ekikwa ky’emyaka 30 ku luno bagenda kukyeyambula. Ensonga ey’amaanyi eri ku bagagga ba ttiimu kukkiriza kuta ssente ne bagula abazannyi abalungi mu buli kitongole,” Benitez bwe yategeezezza.

Liverpool yasemba okuwangula ekikopo kya liigi y’e Bungereza mu 1990 era Benitez agamba nti, “Tebagenda kukitwala lwa kisenge kigumu, baagula abazannyi abalungi ne babatobeka mu buli kitongole. Ggoolokipa, abazibizi aba wakati n’ebbali, abawuwuttanyi n’abateebi bonna balungi.”

Benitez, enzaalwa y’e Spain, yawangulira Liverpool ekikopo kya Champions League mu 2005 wabula ekya Premier kyamulema. Liverpool kati etendekebwa Jurgen Klopp ng’eri ku ntikko ya Premier n’obubonero 46 ate Leicester 38 ne Man City 32 mu mipiira 16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.