TOP

Napoli efuumudde Ancelotti

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League, abazannyi n’abawagizi ba Napoli kyababuuseeko okuwulira nti omutendesi Carlo Ancelotti abatuusizza ku kkula eryo, agobeddwa.

Skysportsancelottinapoli4862833 703x422

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League, abazannyi n’abawagizi ba Napoli kyababuuseeko okuwulira nti omutendesi Carlo Ancelotti abatuusizza ku kkula eryo, agobeddwa.

Carlo Ancelotti ye yafuumuddwa oluvannyuma lwa wiiki ezisoba mu nnya ng’agugulana ne nnannyini ttiimu eno, Aurelio De Laurentilis wamu n’abamu ku bassita baayo.

Napoli yawuttudde Genk (4-0) ku butaka n’ekulembera ekirimu Liverpool ne Salzburg kyokka nnaggagga Laurentilis tekyamulobedde kukwata kyambe.

Kino kiddiridde Napoli okumala emipiira 9 nga tewangula mu liigi ya Yitale (Serie A) kyokka nga bino byonna bikulemberwa obutakkaanya obwaliwo wakati wa Ancelotti n’omugagga oluvannyuma lwa Napoli okulemagana ne Genk mu Belgium.

Omugagga yayita ttiimu yonna mu lusirika, bassita abasinga ne bakiwakanya ne Ancelotti n’abeeyungako, ekyanyiiza Laurentilis ne boodi yonna nti kwali kuyisa maaso mu mugagga.

Ancelotti yatendekako Chelsea, AC Milan, Bayern ne Real Madrid era kigambibwa nti Gennaro Gattuso, eyali ssita we nga bakukumba ebikopo mu AC Milan, y’ateekateeka okumusikira.

Olwawulidde amawulire g’okugobwa mu Napoli, Arsenal ne Everton ne zizina gunteese nga zaagala kumuperereza azitendeke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...

Bab12 220x290

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika...

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

Malac 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...