TOP

Pogba bandimuta mu January

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi nti okugula abazannyi abapya abaagala ttiimu kisinga okwesiba ku eyagikoowa.

Pogba23 703x422

Omufalansa Pogba aludde ng’ayagala kwabulira ManU kyokka ng’omutendesi Ole Gunnar Solskjaer agaana nti kw’agenda okuzimbira ttiimu eddemu ekukumbe ebikopo.

Real Madrid ne Barcelona ze zisinga okumwagala kyokka kigambibwa nti ManU yakkirizza okumutunda emusikize Saul Niguez owa Atletico Madrid ne Donny van de Beek owa Ajax.

Pogba 26, y’asinga ebbeeyi mu ManU nga yagulwa pawundi obukadde 89 okuva mu Juventus ate ng’asasulwa pawundi 290,000 buli wiiki.

Omuwuwuttanyi ono, amaze akabanga nga tazannya olw’obuvune kyokka ng’endagaano ye esigazza emyezi 18 okuggwaako.

W’abuliddewo nga Scott McTominay ne Fred bakwatiridde amakkati naddala bwe baayambye ManU okukuba Spurs ne Man City.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...