TOP

Pogba assuuse n'awa Solskjaer amaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Pogba asubiddwa emipiira gya ManU 15 olw'obuvune.

2016manupogbashout 703x422

Paul Pogba omuwuwuttanyi wa ManU.

Abawagizi ba ManU bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa ssita waabwe Paul Pogba okussuuka obuvune obubadde bumusumbuwa.

Omufalansa Pogba, yazzeemu okutendekebwa oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’ali ku ndiri.

Kyabadde kisuubirwa nti Pogba agenda kuzannya omupiira gwa leero nga ManU ettunka ne AZ Alkmaar, kyokka Solskjaer yategeezezza nti tannatuusa kuzannya.

ManU eri ku lutabaalo lwa kumalira mu bana abasooka oluvannyuma lw’okuwangula emipiira ebiri egiddiring’ana.

Baakubye Man City ggoolo 2-1 sso nga baasoose kukuba Spurs ku ggoolo ze zimu.

Solskjaer yategeezezza abaamawulire nti wadde nga Pogba tagenda kuzannya mupiira gwa leero, emipiira gy’eggandaalo lya Ssekukkulu we ginaatuukira ng’omuzannyi ono ajja kuba assuukidde ddala ng’asobola okuzannya emipiira gya Premier.

ManU eri mu kyakutaano ku bubonero 24 mu mipiira 16 nga ku Ssande, yaakwambalagana ne Everton omupiira gwe yeetaaga okuwangula okwongera amaanyi mu kaweefube waabwe okumalira mu bana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.