TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Lampard ayagala kukansa Wilfried Zaha aggumize ttiimu ye

Lampard ayagala kukansa Wilfried Zaha aggumize ttiimu ye

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

Zaha yayagala dda okwabulira Crystal Palace kyokka bakama be ne bamulemesa okugenda mu Arsenal.

2017crystalpalacezaha1 703x422

Zaha owa Crystal Palace ng'ali wansi oluvannyuma lw'okumukuba endobo.

OMUTENDESI wa Chelsea, Frank Lampard agambye nti bagenda kugezaako okwongera amaanyi mu ttiimu nga bagulayo abazannyi abasobola okulumba.

Lampard, eyatuusizza Chelsea ku luzannya lwa ttiimu 16 mu Champions League, agamba nti ayagala kwongera maanyi mu lugoba oluteebi basobole okuwangula ebikopo.

Lampard, atunuulidde ssita wa Crystal Palace, Wilfried Zaha gw’agamba nti bw’anaamufuna, ajja kuba azibye eddibu lya Eden Hazard gwe baatuna mu Real.

Zaha, yategeeza bakama be nti ayagala kwegatta ku ttiimu ndala kyokka ne bamulemesa mu katale k’abazannyi akasembyeyo Arsenal bwe yali eyagala okumukansa.

 aha ku kkono ate ku ddyo ye ampard omutendesi wa helsea Zaha (ku kkono) ate ku ddyo ye Lampard omutendesi wa Chelsea.

 

Chelsea yeesozze oluzannya lwa ttiimu 16 mu za Bulaaya kyokka Lampard agamba nti omutendera gwe baddako gusuubirwa okuba omuzibu kuba guliko ttiimu ennene okuli; Barcelona, Real Madrid, PSG, Bayern Munich n’endala ezirina ebyoto ebyogi.

Bali mu kifo kyakuna mu Premier nga mu miipiira 16, balina obubonero 29.

Baakuttunka ne Bournemouth ku Lwomukaaga nga baagala kuguwangula okwongera okunyweza ekifo kyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kcca 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Pata 220x290

Mukyala wange tamanyi kulabirira...

MUKYALA wange tamanyi kulabirira baana be era omukozi y’alabirira. Omukozi bw’agenda, awaka tubeera bacaafu, abaana...