TOP
  • Home
  • Ebirala
  • JKL Dolphins yeddiza ekikopo kya basketball mu bakazi

JKL Dolphins yeddiza ekikopo kya basketball mu bakazi

By Gerald Kikulwe

Added 13th December 2019

Ttiimu zino zisiitaanye mu nzannya musanvu era zaatuuse ekiseera ne zisibagana okutuusa ku ddakiika ezisembayo JKL Dolphins bwe yatutte.

Jklmussanyulyekikopo2 703x422

Abazannyi ba JKL Dolphins nga bajaganyiza ekikopo.

Fayinolo ya basketball
UCU Lady Canons 55-62 JKL Dolphins(3-4)

JKL Lady Dolphins ezzeemu okulaga eryanyi mu liigi y’eggwanga eya
basketball bw’ekubye UCU Lady Canons ku nzannya 4-3 ku fayinolo ne
yeddiza ekikopo ky’omwaka guno.

Ku Lwokusatu, obunkenke bwabuutikidde MTN Arena nga ttiimu zombi tewali
eyagala kulekera ginnaayo, JKL yakulembedde ebitundu by’omuzannyo
ebisatu ebyasoose wabula nga UCU tegikkiriza kugikulembera na bubonero
bungi (16-11,11-11,17-15).

Ekitundu ekyokuna, UCU Lady Canons yeerwanyeeko n’ekiwangula
n’obubonero 15-8 ekyatadde omuzannyo mu maliri ga bubonero 52-52.

Ddiifiri yawaliriziddwa okwongeramu eddakiika ttaano ezisalawo
omuwanguzi, JKL n’esinza ensumika n’obubonero 62-55.

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL Dolphins agamba nti ekikopo baakiggye
mu mannyo ga mpisi, kuba okuva lwe baatandika oluzannya olusooka okutuuka
ku lwomusanvu obunkenke bubadde bungi naye Katonda atuwadde obuwanguzi.

“Ddala eno ebadde fayinolo, okuzannya enzannya zonna musanvu,
ne tutuuka n’okusibagana, amazima abadde Katonda ffe okuwangula,
tukoledde wamu era nneebaza bazannyi bannange na buli muntu yenna
abaddewo ku lwaffe,” Aketcho bwe yagambye.

Sarah Ageno kapiteeni wa UCU Lady Canons agamba baakoze kyonna
ekisoboka wabula omukisa tegwabadde ku ludda lwabwe naye tebaweddeemu
maany. Omwaka ogujja bakomawo.

“Ekikopo kigaanyi naye nga tulwanye, tugenda kwetereeza omwaka ogujja
tukole ekisinga ku kye tukoze omwaka guno,” Ageno bwe yagumizza.

Hope Akello owa JKL ye yabadde omuzannyo w'olunaku n'aweebwa emitwalo
10.

JKL Lady Dolphins kino kikopo kyakubiri, ate UCU ebadde enoonya kyamwenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Pata 220x290

Mukyala wange tamanyi kulabirira...

MUKYALA wange tamanyi kulabirira baana be era omukozi y’alabirira. Omukozi bw’agenda, awaka tubeera bacaafu, abaana...