TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Liverpool ekansizza Omujapan n'eyongera okwenyweza

Liverpool ekansizza Omujapan n'eyongera okwenyweza

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

Liverpool ekulembedde liigi ya Premier era eyagala kugiwangula egatteko n'ekya Bulaaya.

Minamino 703x422

Minamino ng'asanyukira ggoolo gye yateebyera Salzburg. Liverpool egambibwa okuba nti yamusonjodde.

LIVERPOOL esonjodde omuwuwuttanyi Omujapan Takumi Minamino.

Omuzannyi ono ow’emyaka 24, baamukansizza mu Red Bull Salzburg gye baabadde nayo mu kibinja kya Champions League sizoni eno kyokka yo n’eremwa okuyitamu.

Omuzannyi ono ayogerwako nti y’omu ku basinga ekitone mu Bulaaya, ttiimu nnyingi zibadde zimwegwanyiza okuli; Monchengladbach eya Girimaani, ManU AC Milan n’endala nnyingi.

ManU ye yasooka okuperereza omuzannyi ono gwe baali baagala okuleeta ayambeko mu kuyiiyiza ttiimu singa balemwa okukans James Maddison owa Leicester.

Obukadde bwa pawundi 7.75 ze baamuguze zigambibwa okubeera entono ennyo olw’omupiira gw’azannya.

Bamutokotedde wiiki mukaaga okutuusa lwe baamusonjodde. Mu wiiki ezijja, omuzannyi ono asuubirwa okujja ku Anfield agezesebwe abasawo oluvannyuma atandike okubazannyira mu January.

Yaakateebera Japan ggoolo 11 mu mipiira 22 sso nga mu kampeyini y’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2022 e Qatar, yaakabateebera ggoolo nnya mu mipiira etaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Pata 220x290

Mukyala wange tamanyi kulabirira...

MUKYALA wange tamanyi kulabirira baana be era omukozi y’alabirira. Omukozi bw’agenda, awaka tubeera bacaafu, abaana...

Nantaba1 220x290

Nantaba ayongedde obujulizi ku...

IDAH Nantaba, omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kayunga ayongedde bwiino ku baagala okutta ababaka bw’ategeezezza...

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...