TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Klopp atadde omukono ku ndagaano empya mu Liverpool

Klopp atadde omukono ku ndagaano empya mu Liverpool

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

Klopp yeegatta ku Liverpool mu October wa 2015 ng'asikira Brendan Rodgers gwe baali bafuumudde.

2017liverpoolkloppclap 703x422

Jurgen Klopp omutendesi wa Liverpool.

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atadde omukono ku ndagaano empya egenda okumukuumira mu ttiimu eyo okutuuka mu 2024.

Klopp, eno egenda kuba ttiimu gy’agenda okuba ng’asinze okulwamu mu byafaayo bye ng’omutendesi.

Mu bubaka bwa vidiyo bwe yatadde mu mukutu gwa ‘twitter’, Klopp yagambye nga bw’ali omusanyufu okugenda mu maaso ng’atendeka ttiimu eno n’akudaalira abatamwagaliza Liverpool nti banuune ku vvu.

Omugirimaani ono yawangulidde Liverpool ekikopo kya Bulaaya sizoni ewedde kye yali yasemba okukwatako mu 2005.

Mu kiseera kino Liverpool y’eri ku ntikko ya Premier nga mu mupiira 16, yaakasuula obubonero bubiri bwokka. Basinga Leicester eri mu kyokubiri obubonero munaana.

Klopp yasuubizza abawagizi ba ttiimu eyo ebikopo ebirala bingi okutandikira ku kya Premier sizoni eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.