TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere n'omutendesi waayo

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere n'omutendesi waayo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2019

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.

2018wolvesceleb32 703x422

Omutendesi wa Wolves, Nuno Espirito Santo y'omu ku batunuuliddwa okutendeka Arsenal.

ABAKUNGU ba Arsenal bategese okusisinkana omutendesi wa Wolves, Nuno Espirito Santo batunule mu mpapula ze balabe oba asobola okutendeka ttiimu yaabwe.

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi wa nkalakkalira anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero y’omwezi oguwedde.

Kyategeezeddwa nti abali ku muyiggo gw’omutendesi wa Arsenal omuggya baawandiikidde Wolves nga bagisaba olukusa olwogerezeganya n’omutendesi waayo.

Nuno Espirito, yayamba Wolves okumalira mu kyomusanvu sizoni ewedde sso nga mw'eno, akyagikuumidde ku mwanjo era ekyalina n'essuubi ly'okumalira mu bifo ebina ebisooka.

Wolves, y'emu ku ttiimu za Bungereza eziri mu Europa ezeesozze oluzannya lwa ttiimu 16 era enkya ku Mmande, zirinze kalulu okumanya ttiimu ze zinaazannya.

Oluvannyuma lw’okugoba Emery, abakungu ba ttiimu abakulirwa eyali ssita waabwe Edu, baalina ekirowoozo ekireka Freddie Ljungberg amaleko sizoni kyokka omutindo ogw’ekibogwe ttiimu gw’eyolesa, guviiriddeko okunoonya omutendesi ow’enkalakkalira mu bwangu.

Arsenal leero ettunka ne Man City mu Premier omupiira gw’erina okuwangula okutangaaza emikisa egimalira mu bifo by’oku mwanjo sizoni eno.

Kigambibwa nti olukalala lw’abatandesi 12 lwe luli mu kutunuulirwa abakungu ba Arsenal basobole okulondako omutendesi.

Ku bano kuliko; Maxi Allegri, Mikel Arteta, Mauricio Pochettino, Carlo Ancelotti, Diego Simeone, Nuno Espirito n’abalala.

Arsenal eri mu kyamwenda mu Premier nga mu mipiira 16 erinamu obubonero 22.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe