TOP
  • Home
  • Mupiira
  • ManU etunuulidde musaayimuto wa Parma mu katale ka January

ManU etunuulidde musaayimuto wa Parma mu katale ka January

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2019

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

Parma 703x422

Dejan Kulusevski, omuwuwuttanyi wa Parma, ManU gw'eperereza.

NG’AKATALE k’abazannyi mu Bulaaya kabulako mbale kaggulewo, omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer alagidde basajja be abamunoonyeza abazannyi baddemu beetegereze musaayimuto wa Parma, Dejan Kulusevski.

Omuzannyi ono nzaalwa y’e Sweden ng’azannya ku wingi zombie era Solskjaer omutindo gwe gumaze ebbanga nga gumucamula kwe yavudde okumutokota.

ManU eri ku muyiggo gw’abazannyi abasobola okuzannya omupiira ogw’okulumba er Kulusevski, 19, ali ku bbanja okuva, mu Atalanta eya Yitale, y’omu ku be bayinza okugula.

Nga bawangula Napoli ggoolo 2-1, Kulusevski, yateebye ggoolo esooka sso nga ye yateereddewo Gervinho ggoolo ey’obuwanguzi mu ddakiika ezisembayo.

Omuwuwuttanyi ono yaakateeba ggoolo nnya sizoni eno era abalirirwamu obukadde bwa pawundi 25.

Kigambibwa nti omuzannyi ono ne Inter Milan emwagala era bategese okwesogga enteeseganya mu katale ka January bamugule ekitegeeza nti ManU erina okwanguwa okumukansa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...