TOP

Tyson Fury si waakuzannya Anthony Joshua

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2019

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Tysonfury 703x422

Fury, Omungereza omuggunzi w'eng'uumi.

OMUGGUNZI w’eng’uumi Tyson Fury agambye nti tagenda kuzannya Anthony Joshua omwaka ogujja.

Fury, amaze akaseera nga tazannya oluvannyuma lw’okulemagana ne Deontay wilder era abawagizi babadde basuubira nti agenda kusaba bazannyemu ne Joshua.

Wabula Fury agamba nti omwaka 2020, tagenda kusobola kulwana kuba alinamu bingi.

Fury ne Wilder bategese okudding’ana mu February w’omwaka ogujja era luyinza okuba olulwana lwe lwokka omwaka ogwo.

Kigambibwa nti endagaano Fury gy’alina n’omukutu gwa ESPN, ekugira Fury okumala gategeka nnwaana kuba kyandimufiiriza ssente za basiponsa.

Ng’ayogera ku lulwana lwa Anthony Joshua ne Bryan Ruiz olwabaddewo wiiki ewedde, Fury yagambye nti omutindo gw’abakubi bombi gwamucamudde kuba baalaze obukugu obw’enjawulo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi