TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba rugby ekisaawe tekibalemesa kunyumirwa mbirigo

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa kunyumirwa mbirigo

By Silvano Kibuuka

Added 16th December 2019

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

Rugbyweb 703x422

Abazannyi ba Toyota Buffaloes ng abeeriga n'aba Mulago Rams mu liigi ku kisaawe kya Kyadondo Dec 14 2019. Buffaloes yawangudde Mulago Rams ku bugoba 05-03

Bya SILVANO KIBUUKA

Mu liigi ya Rugby:

Makerere Impis 03-59 Hima Cement Heathens

Stanbic Black Pirates 13-00 Hippos Jinja

Plascon Mongers 12- 15 Betway Kobs

Shell Rimula Rhinos 03-10 9 Barrel Warriors

Toyota Buffaloes 05-03 Mulago Rams.

Obuwanguzi aba Hima Cement Heathens bwe baatuuseeko ku bugenyi e Makerere gye baakubidde bannyinimu ku bubonero 59-03, bubayambye okwenywereza ku ntikko ya liigi ya rugby mu luzannya olusooka olwa sizoni ya 2019/20.

Balina obubonero 13 mu mipiira esatu gye baakazannya mu kaweefube gwe baliko okweddiza obwa nnantameggwa bwa liigi.

Impis gye baakubye byayongedde kugyonoonekera ng’ekyakoobedde ku kimeeza n’akabonero kamu.

Betway Kobs nayo yalaze essajja bwe yawangulidde ku bugenyi nga yakubye Plascon Mongers e Ntebe ku bugoba 15-12 n’esigala mu kyokusatu ku bubonero 10.

Warriors nayo yalumbye Rhino n’egikubira omwayo ku 10-03 ne yeenywereza mu kyokusatu ku bunonero 12.

Mu nsitaano eyabadde ku kisaawe kya Kyaddondo, bannyinimu aba Toyota Buffaloes baalumye n’ogwengulu okumegga Mulago Rams ku bugoba 05-03 mu luzannya abazannyi bwe baafulumidde nga bafaanana ng’obusolo.

Ekisaawe kino kye kimu ku biddibagiddwa enkuba nga burimu amazzi agatatambula era abazannyi embirigo ebeera mu bisooto.

Buffaloes yawangudde omupiira ogusoose sizoni eno mu nzannya ssatu n’esigala mu kyomunaana ku kimeeza nga ne Rams kye yabadde erwanira n’esigala mu kyomwenda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi