TOP

'Mwenyigire mu mizannyo okwewala emize'

By Musasi wa Bukedde

Added 16th December 2019

Omubaka omukazi owa disituliiti y'e Luweero asabya abavubuka okwettanira emizannyo kibayambe okwewala emize egibaggya ku mulamwa

Luweerowebnew 703x422

Nakate (ku ddyo) ng'akwasa abazannyi ba Makonkonyigo emipiira

Bya Samuel Kanyike          

OMUBAKA omukazi owa Luweero Ying. Lillian Nakate Segujja, asabye abavubuka okumalira ebiseera mu bintu ebibayamba nga emizannyo egizimba omubiri n'okubagatta okusinga okukozesa ebiragala, okwenyigira mu bubbi n'ebirala ebijja okubasuula mu buzibu.

Yasinzidde Makonkonyigo mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero, ng'akwasa abavubuka emipiira n'omujoozi n'abalabula ku kujaajamya emibiri gyabwe okwewala mukenenya n'enddwadde endala ez'ekikaba.

Yabasabye baleme kwemalira mu mizannyo gyokka wabula beegatte mu nteekateeka za Gavumenti ez'okulwanyisa obwavu basobole okweteekerateekera ebiseera byabwe eby'omumaaso.

Abavubuka baamutegeezezza nti baagala okulima nti kyokka tebalina ttaka sso nga n'abalipangisa baliseera ekibasibye mumbeera embi omubaka Nakate n'abawa amagezi okwegatta basobole okwang’anga ensonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....