TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Eyawangudde eza chess yeepikira ttiimu ya ggwanga

Eyawangudde eza chess yeepikira ttiimu ya ggwanga

By Silvano Kibuuka

Added 16th December 2019

Omuyizi n'omusomesa aawangudde empaka za chess

Chessweb 703x422

Abazannyi ba Chess nga bavuganya mu mpaka za SOM Chess Championship 2019

Patricia Kawuma, omuyizi wa Great Valley Children Center  Makindye ne Martin Musinguzi, omusomesa ku Baptist High School balaze sitamina mu Chess, bwe bawangudde empaka za SOM Annual Inter Project Chess Championship ez’omulundi ogw’e 14.

Zimaze ennaku ttaano nga zibumbujjira ku ttendekero lya Chess erya Sports Outreach Ministries (SOM) e Kiwawu mu Mityana nga zeetabiddwamu abazannyi 300 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Kawuma ne Musinguzi baavudde mu kiraabu ka Katwe omwava omuzannyi Phiona Mutesi amanyiddwa nga ‘Queen Of Katwe’.

 atricia awuma ku kkono ne artin usinguzi nga bali ne r awrence uganga eyabakwasizza ebirabo Patricia Kawuma (ku kkono) ne Martin Musinguzi nga bali ne Dr. Lawrence Muganga eyabakwasizza ebirabo

 

“Naziwangulako mu 2017 mu bato. Kinsanyusizza okuwangula ez’abakulu nga kati njagala kifo ku ttiimu y’eggwanga”, Kawuma bwe yategeezezza.

“Oluwummula lunnyambye okuwangula kubanga ezitegekebwa aba Uganda Chess Federation (UCF) mbeera nsomesa ne zizeetabaamu”, Musinguzi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza