TOP

Arsenal esibidde ku Arteta

By Musasi wa Bukedde

Added 17th December 2019

Kigambibwa nti Arsenal etegese obukadde bwa pawundi 5, okubuwa Arteta mu ndagaano gye bategeka okumuwa

Arteta000 703x422

Arteta

ENSONDA ezeesigika okuva mu Arsenal, zikakasizza nga Mikel Arteta bw’agenda okusisinkana abakulu ba ttiimu ku by’okumuwa omulimu gw'obutendesi.

Bukya Arsenal egoba Unai Emery, omulimu ogw’ekiseera n’egukwasa Freddie Ljungberg, ezze enoonya gw’egenda okuwa omulimu guno ow’olubeerera. Abagikulira abasinga, baagadde kuleeta Arteta, eyagizannyirako.

Mu kiseera kino, Arteta, y’amyuka Pep Guardiola ku butendesi bwa Man City. Wabula kigambibwa nti bategese okumuwa endagaano ey'obukadde bwa pawundi 5 buli mwaka era wiiki eno eneeba tennaggwaako, ng’amaze okukkiriziganya nabo. Kyokka abakungu ba Man City beetegese, okuweesa Arsenal engassi, okutwala omutendesi waabwe.

Arteta yazannyirako Arsenal wakati wa 2011 ne 2016. Ebya Arsenal sizoni eno tebinnatereera nga mu Premier eri mu kifo kya 10, nga mu mipiira 5 egisembyeyo ewanguddemu gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...