TOP
  • Home
  • Mupiira
  • FUFA enejjanjaba abazannyi ba liigi ku bwereere

FUFA enejjanjaba abazannyi ba liigi ku bwereere

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2020

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo akubye abazannyi n’abakulembeze ba kiraabu mu liigi ya ‘super’ enkata, bw’alangiridde nga FUFA bw’etaddewo yinsuwa y’abazannyi bonna abasambiramu okutandika ne sizoni ejja.

Jordon 703x422

Magogo (owookubiri ku kkono) nga yeegeyaamu n’abakungu ba FUFA; Watson Edgar (ku ddyo), omumyuka wa FUFA, Darius Kigoye (ku kkono) ate akutamye ye mwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein.

Agambye nti FUFA etaddewo obukadde 400 eza yinsuwa eri abasambi 400 mu Super League, bajjanjabwe ku buli bulwadde okuva ku buvune mu kisaawe n’obulala bwonna obunaabagwiranga ng’essiddwa mu malwaliro ga AAR mu ggwanga lyonna.

Yinsuwa eno, etwaliramu ne baddiifiri abali ku ddaala lya FUFA.

Magogo, yabadde ku kitebe kya FUFA e Mengo ng’asoma lipoota y’omwaka 2019 n’okuwa bye basuubira okukola mu 2020.

“Twagala kutumbula mutindo gwa mupiira. Yinsuwa ya buli bulwadde n’obuvune mu mupiira n’okusigala nga bajjanjabwa ne bwe banaalemaliranga ddala.

Wabula tukyagiwadde musambi yekka sso si famire ye yonna. Abakazi n’abasambira mu akademi, ebyabwe tebinnaba.

Aba Cranes n’aba FUFA Drum balina yinsuwa eya NIC,” Magogo bwe yategeezezza.

Yagambye nti abasambi ba Uganda bangi abalemwa okutuukana n’omutindo n’okuvaamu eky’omugaso lwa kusamba nga balina obuvune, kiraabu bwe zitasobola kujjanjaba olwo be basambira ku mutindo ogw’ekibogwe.

“Abasambi baffe bangi abagenda ku gw’ensimbi ebweru nga balina obuvune ne basalwako nga ne baddiifiri bwe batyo. Abalala talanta zibafudde lwa buvune nga kati twagala kukimalawo,” Magogo bwe yayongeddeko.

Mu birala, Magogo by’alangiridde mu 2020 mulimu okulambika akademi ku bye banaasomesanga, okutandikawo omupiira gw’amasomero ga pulayimale mu bawala, okuzimba ekisaawe kya Kadiba ne Lugazi wamu n’okutandikawo TV ya FUFA.

Ssentebe w’akakiiko ka Uganda Premier League (UPL), Arinaitwe Rugyendo yasiimye FUFA naddala olwa yinsuwa y’abasambi ne baddiifiri.

Ate ssaabawandiisi wa UPL, Bernard Bayinamani agambye nti ensengeka ya liigi ey’ekitundu ekyokkubiri, eneetera okufuluma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....