TOP

Semakula ayagala bukulu mu FMU

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2020

NG’ABANTU ab’enjawulo bakyalaga obwagazi okuvuganya ku bifo by’ekibiina ekitwala omuzannyo gwa mmotoka ne ddigi z’empaka (FMU), Goerge Ssemakula, omusomi wa maapu naye yeesowoddeyo.

China 703x422

Semukala ku mmotoka mw’asomera maapu

Ssemakula, ye yawangudde engule y’ez’akafubutuko mu basomi ba maapu ate nga ku ngule y’eggwanga (NRC), yamalidde mu kyakubiri.

Maapu, abadde agisomera Arthur Blick Jr. Ng’ayogerako ne Bukedde, yategeezezza nti, “Bwe tunaamala empaka z’e Mbarara mu January, ng’enda kuzzaayo layisinsi kwe nvuganyiza mu mmotoka nsobole okwesimbawo ku bukulembeze bwa FMU ng’omumyuka wa pulezidenti ku nsonga za ddigi.”

“Ddigi nazivugako, batabani bange (Miguel ne Jonathan Katende) bazivuga mu mitendera gy’abato era mmanyi obulumi omuvuzi n’omuzadde bwe bayitamu era y’ensonga lwaki nsazeewo okukivuganyaako,” Ssemakula, mutabani wa Godfrey Mukiibi Katende eyaliko kafulu wa ddigi mu gy’e 90 bwe yagasseeko.

Okulonda kwa FMU kusuubirwa okubaawo mu February. Ssemakula yeegasse ku Leon Ssenyange (abadde asomera Ronald Ssebuguzi maapu) g’ono naye ayagala kifo ku bukulembeze bwa FMU.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...