TOP

Obuwanguzi bwa Buganda Road bubawadde essanyu

By Moses Kigongo

Added 5th January 2020

Obuwanguzi bwa Buganda Road bubawadde essanyu

Kip1 703x422

Essanyu lyabuutikidde ekisaawe kya Buganda Road oluvanyuma lwa ttiimu y'awaka (eya Buganda Road FC) okufuna obuwanguzi ku ttiimu ya Miracle mu ddakiika ezisembayo.
 
Bino by'abadde mu liigi y'ekibinja ekyokuna(1st division) ku Lwomukaaga akauwngeezi ttiimu ya Buganda Road bwe yalumye n'ogwengulu okuwangula ginayo (eya Miracle) mu ddakiika 3 ezongerwaamu ddiifiri olwo abawagizi baayo abakulembedwa Richard Kibalama ne baffa essanyu.
 
Buganda Road yagenze okuyingira mu mupiira guno nga yetaaga obubonero 3 okusobola okuva mu bifo bya Banambalujega mwe yabadde nga tegunatandika.

Era omupiira olwatandise ne bakolerawo ennumba ez'okumukumu okukakana nga bafunye ggoolo esooka mu kitundu ekisooka.

 
Mu kitundu Ekyokubiri Miracle nayo yakoze ze zimu (ez'okumukumu) okukakana ng'ebateebye ggoolo y'ekyenkanyi ekyatiisiza abawagizi ba Buganda Road ne batandika okulajjanira abazannyi babwe okubanoonyeza ggoolo y'obuwanguzi.
 

Wabula abazibizi ba Miracle baabade bamalirivu okulemesa abateebi ba Buganda road okuteeba era bakira tebabakiriza kwetaaya na mupiira okutuusa u ddakiika ez'ongerwamu (esattu) omuteebi Joseph Kato(owa Buganda Road) bwe yafunidde ttiimu ye ggoolo y'obuwnaguzi olwo essanyu ne libuutikira ekisaawe kya Buagnda Road olw'abawagizi bayo okweeyiwa mu kisaawe okugyaganya ne ttiim yabwe.

 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana