TOP

Mutebi alabudde Mbarara City

By Silvano Kibuuka

Added 7th January 2020

Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi agambye nti kikafuuwe Mbarara City FC okumukibira ku butaka ku kisaawe kya StarTimes Stadium we bagenda okukwataganira enkya (Lwakusatu) mu luzannya lwa liigi olwokubiri.

Kccapressjan72020mikemutebi2 703x422

Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi Jan 7 2019 ng'annyonyola bannamawulire e Lugogo. (ekif:Silvano Kibuuka)

KCCA tewangulanga ku Mbarara City FC mu myaka esatu egiyise nga mu gwasembye mu liigi KCCA yawanguliddwa e Mbarara ggoolo 2-1.

KCCA eri mu kyakubiri ku kimeeza kya liigi n’obubonero 32 ate nga Mbarara eri mu kyamunaana n’obbonero 19.

“Tetubanyooma era tubawa ekitiibwa nti balungi naye ku luno nedda teri kutuwangula. Bano balina omutendesi omulungi Bryan Senyonjo naye abasambi bange bamusaayimuto ababadde n’obuvune bakomyewo”, Mutebi bw’ategeezezza bannamawulire mu kutendeka kwa kiraano mu ttuntu lya leero.

Amenye abasambi be abawerako okuli Sadam Juma, Sam Ssenyonjo, Jackson Nunda, Mike Mutyana, Sadat Anaku ne Mustafa Mutyaba ababadde abalwadde nga kati bakomyewo balamu.

Wabula abasambi ababade  tebava mu mawulire, Allan Okello ne Mustafa Kizza nga bwe bali abalwadde.

“Kizza alina obuvune mu kisambi ate Okello alina omusujja”, bwe yalambise wabula n’ayongerako nti KCCA neetegefu okubawa endagaano ensava kyokka singa banaagigaana tebajja kubeegayirira.

Abawabudde nti waliwo ebeeyita ba ajeenti abababuzaabuza ku ssente ennyingi mu makiraabu ebweru n’agamba nti tebanatuuka.

Sizoni eno Mutebi era agaanyi omugula abazannyi nti bonna b’aguza tebamuyambye.

Abasambi abalala abatasuubirwa mu mupiira enkya ye Simon Serunkuma ne Keziron Kizito be yagambye nti yabawummuzza emyezi ebiri ogwa December ne January lwa kwebulankanya ne batajja mu kutendekebwa e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....