TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Abakubi b'ebikonde abaayiseemu batandise okwetegeka

Abakubi b'ebikonde abaayiseemu batandise okwetegeka

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2020

Uganda enoonya mudaali gwa bikonde gusooka mu mizannyo gya olympics mu myaka 40.

Bombersolympics4 703x422

Stanely Mugerwa ku kkono ng'attunka ne Shadir Musa (ku ddyo). Musa y'omu ku bakubi abaayiseemu.

TTIIMU y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ y’abazannyi 13 etandise okwetegekera empaka z’okusunsulamu abagenda okwetaba mu mizannyo gya Olympics egigenda okubaawo omwaka guno mu kibuga Tokyo ekya Japan.

Mu kiseera kino abazannyi 13 abaayise mu kakung'unta akaabaddewo wiikendi ewedde e Lugogo baali mu kutegekebwa ku kiraabu zaabwe ez'enjawulo olwo ku Ssande eno January 12 lwe bagenda okuyingira enkambi  mu kutendekebwa kaasammeeme e Luzira.

Baakusooka mu kusunsulamu kw’abakubi b’ebikonde abagenda okwetaba mu mizannyo gya Olympics okuva mu Afrika okw’okubaawo wakati wa February 20 ne 29 e Dakar Senegal.

Uganda yasemba okufuna omudaali mu mizannyo gya Olympics mu bikonde mu 1980 e Moscow mu Russia.

Kw'olwo, John 'Beast' Mugabi yawangula omudaali gwa feeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi