TOP

Wydad etutte Madondo

By Ismail Mulangwa

Added 10th January 2020

Madondo, abadde mpagiruwagga mu Busoga United bukya agyegatako mu 2017 ng’ava mu ssomero lya Jinja SS. Sizoni ewedde ateebye ggoolo 12 eza liigi ya Uganda.

Madondo1 703x422

Madondo ng'asanyukira ggoolo gye yateebera Cranes.

MUSAAYIMUTO Joel Madondo yeegasse ku Wydad Casablanca ey’e Morocco ku ndagaano ya myaka esatu ng’ava mu Busoga United ey’e Jinja.

Ono waakuziba eddibu lya Ayoub EL Khabi enzaalwa y’e Morocco abadde ku bwazike okuva mu Hebei Fortune ey’e China.

Madondo, abadde mpagiruwagga mu Busoga United bukya agyegatako mu 2017 ng’ava mu ssomero lya Jinja SS. Sizoni ewedde ateebye ggoolo 12 eza liigi ya Uganda.

adondo ngakyali mu usoga nited u katono ngali nekikopo kya Madondo ng'akyali mu Busoga United. Mu katono ng'ali n'ekikopo kya CECAFA.

 

Yabadde musaale mu mpaka za CECAFA ezayindidde e Kampala nga Uganda eziwangula omwaka oguwedde bwe yakubye Eritrea (3-0), nga ye yateeba ggoolo eyookusatu.

Madondo, yeegasse ku Murushid Juuko nga Munnayuganda owookubiri okuzannyira ttiimu eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...