TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • City Oilers etandise ewunya kikopo kya Basketball ekyomusanvu

City Oilers etandise ewunya kikopo kya Basketball ekyomusanvu

By Gerald Kikulwe

Added 11th January 2020

CITY Oilers bannantameggwa ba liigi ya babinywera eya Baskeskeball mu ggwanga batandise okuwunyiriza ku vvumbe ly’okweddiza ekikopo kino omulundi ogwomusanvu ogw’omuddiring’anwa.

Fadhilichumaowaucungattunkanejoshjohnsonowacityoilers 703x422

Fadhili Chuma owa UCU ng'attunka ne Josh Johnson owa City Oilers

Mu fayinolo ya Basketball

City Oilers 63-57 UCU Canons

Ku Lwokutaano January 10 mu MTN Arena, Oilers yafunye obuwanguzi obw’omulundi ogwokusatu kw’ezo omusanvu ze balina okuttunka ku fayinolo y’omwaka guno, yakubye UCU Canons(63-57).

Kati ku nzannya ennya ze baakazannya kw’ezo omusanvu ezirina okuzannyibwa, Oilers yaakawangulako 3-1, ssinga ewangula oluzannya oluddako ejja kuba erangirirwa ku bwa kyampiyoni bw’omwaka guno omulundi ogwomusanvu ogw’omuddiring’anwa.

Jimmy Enabu kapiteeni wa City Oilers ye yasinze okuteeba(23), libbaawundi 8 ate n’ayambako abalala mu kuteeba emirundi etaano n’addirirwa James Okello(20). Ate David Deng ye yasinze okuteebera UCU Canons(16) n’addirirwa Fadhil Chuma(11).

City Oilers enoonya kikopo kya musanvu ate UCU Canons enoonya kisooka. Oluzannya olwokutaano lwa wiiki ejja ku lwokusatu(January 15).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....