TOP
  • Home
  • Ebirala
  • City Oiler ewuyunyiriza ekikopo kya basketball

City Oiler ewuyunyiriza ekikopo kya basketball

By Gerald Kikulwe

Added 12th January 2020

City Oiler bw'ewangula oluzannya olugenda okubeerawo ku Lwokusatu, yaakulangirirwa ku bwakyampiyoni.

Basket 703x422

Fadhili Chuma owa UCU (ku ddyo) ng'attunka ne Josh Johnson owa City Oilers ku Lwokutaano.

Mu fayinolo ya Basketball

City Oilers 63-57 UCU Canons

CITY Oilers bannantameggwa ba liigi ya babinywera eya basketball mu ggwanga batandise okuwunyiriza ku kawoowo k'ekikopo kya sizoni eno.

Bano baagala kukyeddiza omulundi ogwomusanvu ogw’omuddiring’anwa oluvannyuma lw'obuwanguzi bwe baatuuseeko ku Lwokutaano.

Mu nsiitaano eyabadde mu MTN Arena, City Oilers yamezze UCU Canons ku bugoba 63-57 n'efuna obuwanguzi obw’omulundi ogwokusatu kw’ezo enzannya omusanvu ze balina okuttunka ku fayinolo y’omwaka guno.

nabu owa ity ilers nomupiira ngagezaako okugussa mu katimbaEnabu owa City Oilers n'omupiira ng'agezaako okugussa mu katimba.

 

Kati ku nzannya ennya ze baakazannya, City Oilers yaakawangulako 3-1, era ssinga ewangula oluzannya oluddako, ejja kulangirirwa ku bwakyampiyoni bw’omwaka guno omulundi ogwomusanvu ogw’omuddiring’anwa.

Jimmy Enabu kapiteeni wa City Oilers ye yasinze okuteeba yateebye obugoba (23), ne libaawundi 8 ate n’ayambako abalala mu kuteeba emirundi etaano n’addirirwa James Okello (yateebye 20).

David Deng ye yasinze okuteebera UCU Canons (yateebye obugoba 16) n’addirirwa Fadhil Chuma (11).

City Oilers, enoonya kikopo kyamusanvu ate UCU Canons enoonya kisooka. Oluzannya olwokutaano lwa Lwakusatu nga January 15 ejja ku Lwokusatu e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.