TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aubameyang waakusubwa omupiira gwa Chelsea mu Premier

Aubameyang waakusubwa omupiira gwa Chelsea mu Premier

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2020

Arsenal ezzaako kuttunka ne Sheffield United ku Lwomukaaga, omupiira gw'erina okuwangula okutangaaza emikisa gyayo okumalira mu bana abasooka.

2019arsenalvcrystalpalace4 703x422

Aubameyang (ku kkono) ng'attunka ne James McArthur owa Crystal Palace.

Abawagizi ba Arsenal abaavudde ku kisaawe kya Selhurst Park ekya Crystal Palace balina okuba abasanyufu olw’akabonero ke baggyeeyo.

Baalemaganye ggoolo 1-1 mu nsiike ya Premier eyabaddewo ku Lwomukaaga kyokka ensiike eno kaabuze kata baleme kuggyayo wadde akabonero.

Arsenal ye yasoose okuteeba mu ddakiika y’e 12 ne ggoolo ya kapiteeni Pierre Aubameyang kyokka mu ddakiika ya 54, Jordan Ayew n’akuba ey’ekyenkanyi.

Guno gwabadde mupiira gwakutaano sizoni eno nga Arsenal bagiva emabega ne bagiyunga.

Benkanyizza likodi gye bassaawo mu sizoni ya 2010-2011 era bwe baabava emabega mu mipiira gye gimu ne babalemesa okuwangula.

Mu mupiira gye babavudde emabega, Arsenal bagikubyeko ena ate emirala ena ne giggweera mu maliri.

Mu mupiira guno, kapiteeni Aubameyang yafuniddemu kaadi emmyuufu olw’okuzannyisa ettima ku Max Meyer ekitegeeza nti waakusubwa emipiira esatu egiddako.

Arsenal yasigaddewo mu kifo eky’e 10 ku bubonero 28 mu mipiira 22.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka