TOP

Uganda ekubya Ethiopia

By Silvano Kibuuka

Added 12th January 2020

Bamusaayimuto ba Uganda abawala abacanga akapiira ek’ebigere bawadde abawagizi essanyu bwe bawangudde Ethiopia ggoolo 2-0 mu luzannya olusoose olw’okusunsula abanaazannya World Cup y’abali wansi w’emyaka 17 omwaka guno.

Ugandagirlsu17jan112020btethiopia20majidahnandago 703x422

FIFA U-17 GIRLS WORLD CUP QUALIFIER:

Oluzannya Olusooka:

Uganda 2-0 Ethiopia

Babadde ku kisaawe eky’ekiwempe ekya StarTimes Stadium e Lugogo.

Kapiteeni Juliet Nalukenge y’asoose okulengera akatimba mu ddakiika eyokutaano bw’atomedde omupiira ogulemye omukwasi wa Ethiopia Foziya Zenabu okukwata.

Mu ddakiika eye 85, Catherine Nagadya ateebedde Uganda ggoolo ey’okubiri essizza emitima gy’abawagizi egibadde gyewanise olw’enzannya ya Ethiopia ebadde esukkulumye ku ya bakabakyaza.

Omutendesi wa Uganda Ayub Khalifa agambye nti kituufu aba Ethiopia batadde Uganda ku bunkenke wabula ng’ekisinga obukulu kwe kuwangula omuzannyo.

“Baanyomye ate nga ttiimu eyo tetugisambangako. Wabula kati mu kudding’ana bajja kugenda nga bategedde nti nzibu. Tugenda n’okugolola ensobi n’okweyongera ku sitamina”, Khalifa bw’ategeezezza bannamawulire.

Ttiimu zidding’ana January 24 mu Ethiopia.

 

 

 

 

 

 

 

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka