TOP

Kyetume erinze Tooro United

By Ismail Mulangwa

Added 14th January 2020

Enkya Kyetume ezannya Tooro United gye baggyeeko obubonero busatu oluvannyuma lw’abazannyi baayo okwebulankanya wiiki ewedde mu gwagulawo oluzannya olwokubiri.

Toorounited 703x422

Kisekka

Mbarara City-Wakiso Giants 10:00

BUL-URA 10:30

Police-Express 10:30

Kyetume-Tooro United 10:30

Mohammed Kisekka abadde omutendesi wa Bright Stars nga kati yali mu Tooro United obwanga abwolekezza Kyetume ng’ayiga buwanguzi busooka okuva lwe yeegasse ku ttiimu eno wiiki ewedde.

Bukya sizoni etandika, Kisekka abadde atendeka Bright Stars nga mu mipiira 15 gye baazannye mu luzannya olusooka yawanguddeko gumu n’amaliri musaanvu ate emirala musanvu bagimukubye.

Enkya azannya Tooro United gye baggyeeko obubonero busatu oluvannyuma lw’abazannyi baayo okwebulankanya nga ttiimu egenda kuzannya Onduparaka wiiki ewedde e FortPortal mu gwagulawo oluzannya olwokubiri.

Tooro United y’emu ku kiraabu ezibaddemu ebizibu okuli obutasasula bazannyi, abazannyi obutaba na layisinsi zibakkiriza kuzannya saako ne ssentebe waabwe, Moses Tusiime okubabulira. Sizoni eno baakatendekebwa abatendesi okuli; Wasswa Bbosa, Eric Kawoowo Ndifuna ne Kisekka eyaakabeegattako. Bali mu kya 14 n’obubonero 14 ate Kyetume ya 12 n’obubonero 16.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza

Top1 220x290

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza...

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza ab’e Kalungu

Kat1 220x290

UNBS esabiddwa ku ddagala ery’obulabe...

UNBS esabiddwa ku ddagala ery’obulabe

Lab1 220x290

Abatemu balondodde omusuubuzi ne...

Abatemu balondodde omusuubuzi ne bamutta