TOP

Capt. Mike Mukula akomyewo mu mmotoka z'empaka

By Nicholas Kalyango

Added 10th February 2020

Capt. Mike Mukula akomyewo mu mmotoka z'empaka

Kit14 703x422

Mike Mukula ne munne nga begeyaamu

KALENDA ya 2020 mu muzannyo gw'emmotoka tegenda kukoma ku kuleeta bavuzi bapya wabula ekomezzaawo n’abakadde.

Capt. Mike Mukula, ye muvuzi eyaakasembayo okulangirira nga bw’agenda okudda mu muzannyo. Mukula yaguze emmotoka ya Kuku Ranjit era ku Ssande yasiibye Busiika nga yeegezesa mpozzi n’okwejjukanya engeri gye bakubamu ggiya mu z’empaka.

“Nneetaaga wiiki endala nga 3 okuddamu okumanyira obulungi emmotoka y’empaka n’okwejjukanya ddi lweninna okukola ki.

Omuzannyo guno gwetaaga ng’olowoolezaawo ate n’osalawo mu budde obutawera sikonda 5 kuba gutambulira ku budde. Nsuubira omwezi ogujja njakuba nsobola okuvuganyizza ddala n’abavuzi abalala kuba omuzannyo siguddeemu muggwe.” Mukula bwe yagambye.

Mukula eyali amanyikiddwa nga ‘Flying Mike’, yasemba okuvuga mu 2007 bwe yali mu mpaka zaakafubutuko ezaali mu Botanical Gardens e Ntebbe. Yali mu mmotoka Toyota Corolla GT4 wabula ku luno agenda kubeera mu Subaru Impreza N14.

Mu ngeri y’emu, abavuzi bali mu kwetegekera zigulawo kalenda y’omwaka guno etandika ku wiikendi eno n’empaka za Rukaari - Lake Mburo Mbarara Rally. Abavuzi 35 be baakakakasa okwetaba mu mpaka zino ezigenda okuvuganyizibwa ku buwanvu bwa kiromita 171.55 okumala ennaku 2.  Arthur Blick Jr yaasuubirwa okugulawo ekkubo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.

Ministernakiwalakiyingi 220x290

Coronavirus: Baminisita 3 bayomba...

Olutalo olugambibwa okuba wakati wa baminisita basatu nga luva ku ssennyiga wa coronavirus luvuddeyo mu lujjudde...

Bobiwinehavingamusicalmomentwithsingingpartnernubian 220x290

Coronavirus: Bobi Wine afulumizza...

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya ku ssennyiga omukambwe lw’azzizza ku lwa coronavirus alert olubadde lwakasaanikira...