TOP

Musa Doka ne Musa Mukasa balaze obuzira ku kisaawe e Kazo

By Moses Kigongo

Added 10th February 2020

Musa Doka ne Musa Mukasa balaze obuzira ku kisaawe e Kazo

Sat16 703x422

ABAZANNYI mu liigi ya Super okuli ;Musa Doka(eyaliko mu URA ne SC Villa) ne Musa Mukasa(owa Tooro United) bavudde ku kisaawe kye Kazo nga bafuuse bazira oluvannyuma lw'okuyamba ttiimu z'oku kitundu byabwe okusitukira mu kikopo kya Kawempe Province.

Bino byabadde ku kisaawe ky'e Kazo ku Ssande oluvannyuma lwa Mukasa okuteebera ttiimu ye Kawempe ggoolo eyagiyambye okukulembera ttiimu ya Kampala Central mu kitundu ekisooka,ate Doka n'agiteebera emu ku ggoolo (bwe baabade mu kakodyo kokusimulagana peneti) eyagiyambye okusitukira mu kikopo kino oluvanyuma lw'eddakiika 90 okuggeera mu maliri ga 1-1

Embeera eno yasanyusizza abawagizi baabwe ne babatendereza nga bwe bali abazira ssaako n'okubayimbira obuyimba obubasuuta.

Baabadde mu mpaka za Kampala Province ezagendereddwamu okuzuula ebitone n'abazannyi  abagenda okuzannyira ttiimu ya Kampala Province  mu mpaka za FUFA Drum.
 
Omukolo  gwetabiddwako abaddukanya omupiira mu Kampala district abakulembeddwa Peter Nkugwa ne FUFA okwabadde Darious Mugoye(omumyuka wa presidenti wa FUFA ow'okubiri) abakwasiza abawanguzi ebirabo eby'enjawulo okwabadde emiddaali n'ekikopo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.