TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ebyaviiriddeko Livingstone Mbabazi okufuumulwa ku Team ya Waksio Giants

Ebyaviiriddeko Livingstone Mbabazi okufuumulwa ku Team ya Waksio Giants

By Ismail Mulangwa

Added 12th February 2020

Ebyaviiriddeko Livingstone Mbabazi okufuumulwa ku Team ya Waksio Giants

Mbu1 703x422

Livingstn Mbabazi eyagobeddwa ku team ya wakiso Giants

KIRAABU ya Wakiso Giants ezannyira mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League efuumudde Livingston Mbabazi oluvannyuma lw’okwolesa omutindo omubi.

Mbabazi yabweebwa omulimu guno ng’asikira Kefa Kisala mu November w’omwaka oguwedde ku ndagaano y’amyaka ebiri ng’ava mu kiraabu ya Onduparaka FC mu Arua.

Mbabazi bukya yegatta ku ttiimu eno ebintu tebimutambulidde bulungi ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu Stadium e Wakiso nga mipiira musanvu gy’azannya awanguddeko ebiri,amaliri gamirundi ebiri n’okukubwa emipiira esatu.

Kino kidiridde ttiimu okukubwa Tooro United 2-1 ebadde esitaana mu liigi e Fort Portal oluvannyuma lw’omutendesi obutakwatagana n’abazannyi ekintu ekyamuviriddeko okumufuumula.

Ttiimu agirese mu kifo kya mwenda mu liigi n’obubonero 25 nga kati eyaliko ssita wa ttiimu eno Stevn Bengo yagenda okugikwatamu akaseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League