TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Etteeka lya basketball epya lireese enkyukakyuka mu team ya KIU Titans

Etteeka lya basketball epya lireese enkyukakyuka mu team ya KIU Titans

By Gerald Kikulwe

Added 12th February 2020

Etteeka lya basketball epya lireese enkyukakyuka mu team ya KIU Titans

Lab13 703x422

OLUVANNYUMA lw’ekibiina ekifuga omuzannyo gwa Basketball mu ggwanga(FUBA)okuyisa etteeka nti season empya teri ttiimu egenda kukkirizibwa kuzannyisa bazannyi bagwiira abasukka mu bana, KIU Titans basazeeko abazannyi bataano.

Denis Balungu(DRC), Sudi Ulanga(Tanzania),Brian Ssentongo(Uganda), Oscar Muge(Kenya), Ettiene Kazungu Ntwali(DRC) be baasaliddwako okukendeeza ku muwendo gw’abagwiira mukaaga ababadde ku ttiimu, kati kusigaddeko babiri( Micheal Bwanga(DRC) ne Collins Kasujja(Kenya).

Nasser Sserunjogi omuyima wa KIU Titans agamba nti kino bakikoze olw’ensonga nti baagala okuwa omukisa ebitone ebito ate bano babadde bakuze ng’omutindo gwabwe tegukyeyongerako nnyo.

“Twagala kuzimba ttiimu kabiriiti ng’esingamu baana bato okusobola okuvuganya ku bikopo,” Sserunjogi bwe yakakasizza.

Titans sizoni ewedde baawandukidde ku “quarter’  nga Kyambogo Worriors yeebakuba(2-1)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...