TOP

Nakirijja ayabulidde team ya Dolphins

By Gerald Kikulwe

Added 12th February 2020

Nakirijja ayabulidde team ya Dolphins

Lab14 703x422

Nakirijja

NAKIRIJJA AYABULIDDE JKL DOLPHINS

Omuzannyi  abadde akyasinze okuwangaala mu ttiimu ya JKL Dolphins okumala emyaka etaano Peace Nakirijja ayabulidde bakyampiyoni b’ekikopo ky’abakyala emyaka ebiri egy’omuddiring’ana(2018 ne 2019) mu Basketball nga yeekengedde nti ffoomu ye eyinza okumwokesa akatebe sizoni ejja.

 “Sizoni eweddeko nga sifuna budde bumala ku kisaawe ate endagaano yange yaweddeko,ttiimu yabadde ekyayagala nsigale naye ndaba nga kati ennono yaabwe eri ku baana bato ekintu nange kye mpagira, kwe kusalawo mbawe omukisa naye nga ngenda kufuna ttiimu mu liigi ya babinywera mweng’enda okuzannyira,” bwe yakakasizza.

Nakirijja agamba nti ttiimu ye bw’ebadde mu mpaka za zone 5 newankubadde ekikopo baakiwangula naye yali yeesunze okuzannya ekimala wabula abakungu ba ttiimu beewola abazannyi ba UCU ne Nkumba okuli;Zaina Lokwameri,Rose Akon, Sarah Ageno(UCU), Brenda Akon(Nkumba) olwo ye akatebe ne kamwokya.

Mu ngeri y’emu, A1 Challenge mu liigi ya babinywera eya Basketball abakyala, esazeeko abazannyi basatu okuli; Georgia Adhiambo(Kenya),Agnetta Kambua(Kenya) ne Elizabeth Akol(Uganda)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’