TOP

Abasituzi b'obuzito batutte emidaali mu NCS

By Silvano Kibuuka

Added 19th February 2020

Abasituzi b'obuzito batutte emidaali mu NCS

Det1 703x422

ABA team y’eggwanga ey’okusitula obuzito eya Crane Lifters batutte emidaali n’ekikopo bye baawangudde mu mizannyo gy’ensi yonna egyetabiddwamu amawanga g’Obusiraamu 47 ne bagyanjula mu kakiiko akavunanyizibwa ku mizannyo aka NCS e Lugogo.

Babikwasizza omumyuka wa ssabawandiisi wa NCS David Katende

Pulezidenti wa Uganda Weightlifting Federation (UWF), Salim Musoke y’akulembedde ekibinja n’agamba nti Uganda ekyalina emikisa okugenda mu Olympics ze Japan 2020 singa gavumenti eneetekamu ensimbi abazannyi okwongera okuvuganya mu mpaka za mirundu ebiri ezisigaddeyo okuggalawo okusunsula abanaagenda e Tokyo.

Uganda yakutte kyakutaano mu mpaka ezaabadde mu kubuga Tashkent mu ggwanga lya Uzbekistan nga February 8-13.

Omuzannyi Davis Nyiyoyita ye yawangudde emidaali gya gy’ekikomo (Bronze) esatu bwe yasitudde kiro 197 omugatte.

Abazannyi abalala abaavuganyizza ye Zubair Kubo, Hakim Ssempereza ne Mubarak Kivumbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono