TOP

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2020

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

St14 703x422

Kyetume FC-Maroons FC

Kiboga Young-Proline FC

Kataka FC-Free Stars

Dove FC-KCCA FC

Tooro United-Kitara FC

URA-Wakiso Giants

SC Villa- Mbarara City

Light SSS-UPDF FC

BATABANI ba Edward Kaziba aba SC Villa akalulu kabasudde ku Mbarara City mu luzannya olwa ttiimu 16 mu mpaka za Stanbic Uganda Cup.

Obululu bukwatiddwa ku kitebe kya FUFA e Mengo nga ttiimu ezizannyira mu liigi ya babinywera eya Startimes Premier League zakuttunka ne za Big League mupiira ogujja okuba omunyuvu.

Empaka zino zisuubirwa okuzannyibwa wakati wa 10-15 omwezi ogujja ng’omupiira oguliko obugombe gwe gwa SC Villa nga ekyaza Mbarara City e Namboole.

URA FC bakuttunka ne Wakiso Giants e Ndejje nga URA eyagala kwesasuliza Wakiso kye yamukola mu liigi,KCCA bakukyalira Dove FC ezannyira mu liigi ya Big League e Masindi.

Bannantameggwa b’empaka zino aba Proline bakukyalira Kiboga Young e Mbale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...